2 Kings 25:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bbugwe w'ekibuga ne bamubomola, abasajja bonna abatabaazi ne batoloka mu kibuga ekiro nga bayitira mu muzigo oguli wakati w'ebisenge ebibiri ng'olaga ku nnimiro ya kabaka, newandibadde nga Abakaludeya baali bakitaayizza. Ne bakwata ekkubo eriraga mu Araba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka n’eggye lye lyonna abaali mu kibuga ne bawagula mu bbugwe ekituli, ekiro, ne badduka nga bayita mu mulyango ogwaliraananga ennimiro ya kabaka ne bayita ne ku Bakaludaaya abaali bazingizza ekibuga enjuuyi zonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne bakuba ekituli mu bbugwe we kibuga, abasajja bonna abalwanyi ne batoloka kiro, newakubadde nga Abakaludaaya bali bazingizizza ekibuga enjuyi zonna. Ne bakwata ekkubo eriyita mu nnimiro ya kabaka, ne bayita mu mulyango ogugatta ebisenge ebibiri, kabaka n'agenda nabo nga bayita mu kkubo lya Alaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bakuba ekituli mu kigo ky'ekibuga. Abasajja bonna abaserikale ne babomba ekiro, newaakubadde ng'Abakaludaaya baali bazingizizza ekibuga enjuyi zonna. Ne bakwata ekkubo eriyita ku nnimiro ya kabaka, ne bayita mu mulyango ogugatta ebisenge ebibiri, Kabaka n'agenda nabo ng'ayolekedde Ekiwonvu kya Yorudaani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne bawagula mu kibuga ekituli, abasajja bonna abalwanyi ne badduka kiro mu kkubo ery'omulyango oguli wakati wa babbugwe babiri ogwaliraana olusuku lwa kabaka: (era Abakaludaaya baali nga bazingizizza ekibuga enjuyi zonna:) kabaka n'ayita mu kkubo erya Alaba.