2 Kings 25:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eggye ly'Abakaludeya ne liwondera kabaka ne limukwatira mu lusenyi lwa Yeriko, eggye lye lyonna ne limwabulira, ne libuna emiwabo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye eggye ly’Abakaludaaya ne bagoberera kabaka, okutuusa lwe bamukwatira mu nsenyi ez’e Yeriko n’eggye lye lyonna ne lisaasaana okumwabulira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye eggye ery'Abakaludaaya ne bawondera kabaka Zeddekiya ne bamutuukako mu nsenyi ez'e Yeriko: eggye lye lyonna nerimwabulira nerisaasaana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ab'eggye ly'Abakaludaaya ne bawondera Kabaka Zeddeekiya, ne bamutuukako mu nsenyi z'e Yeriko, eggye lye lyonna ne lisaasaana, ne limwabulira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye eggye ery'Abakaludaaya ne bagoberera kabaka ne bamutuukako mu nsenyi ez'e Yeriko: eggye lye lyonna ne lisaasaana okumwabulira.