2 Kings 25:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka ne bamuwamba, ne bamutwala ewa kabaka w'e Babiloni e Ribula, n'amusalira omusango.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bawamba kabaka, ne bamuleeta eri kabaka w’e Babulooni e Libula gye yasalirwa omusango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne bawamba kabaka, ne bamutwala eri kabaka w'e Babbulooni e Libula; n'amusalira omusango okumusinga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bamuwamba ne bamutwala eri kabaka wa Babilooniya e Ribula, ne bamusalira omusango okumusinga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne bawamba kabaka, ne bamwambusa ne bamuleeta eri kabaka w'e Babulooni e Libula; ne bamusalira omusango.