2 Kings 25:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Batabani ba Zedekiya ne babattira awo mu maaso ge. Amaaso ga Zedekiya n'agatungulamu, n'amusiba n'enjegere ez'ekikomo, n'amutwala e Babiloni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne battira batabani ba Zeddekiya mu maaso ge, ne bamuggyamu amaaso, ne bamuteeka mu masamba, n’atwalibwa e Babulooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne battira batabani ba Zeddekiya mu maaso ge, ng'alaba, ye ne bamusiba mu masamba, ne bamutwala e Babbulooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne batta batabani ba Zeddeekiya mu maaso ge ng'alaba. Ne bamuggyamu amaaso, ne bamusiba mu njegere, ne bamutwala e Babilooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne battira batabani ba Zeddekiya mu maaso ge, ne bamuggyamu amaaso Zeddekiya, ne bamusiba mu masamba, ne bamutwala e Babulooni.