2 Kings 25:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwezi ogwokutaano, ku lunaku olwomusanvu, mu mwaka ogw'ekkumi n'omwenda ogwa Nebukadunezzari kabaka w'e Babiloni, Nebuzaradani omukulu w'abakuumi ba kabaka w'e Babiloni yajja e Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ku lunaku olw’omusanvu mu mwezi ogwokutaano mu mwaka ogw’ekkumi n’omwenda ogw’obwakabaka bwa Nebukadduneeza, kabaka w’e Babulooni, Nebuzaladaani omuduumizi ow’eggye lya kabaka ery’oku ntikko, ate nga mwami wa kabaka w’e Babulooni n’ajja mu Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo mu mwezi ogw'okutaano ku lunaku olw'omusanvu olw'omwezi, gwe mwaka ogw'ekkumi n'omwenda (19) ogwa kabaka Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni, Nebuzaladaani omukulu w'abambowa omuddu wa kabaka w'e Babbulooni n'agenda e Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olw'omusanvu olw'omwezi ogw'omwenda mu mwaka ogw'ekkumi n'omwenda bukya Nebukadunezzari afuuka kabaka wa Babilooniya, Nebuzaradaani, omukungu omukulu w'abakuumi ba Kabaka wa Babilooniya, n'ajja e Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mu mwezi ogw'okutaano ku lunaku olw'omusanvu olw'omwezi, gwe mwaka ogw'ekkumi n'omwenda ogwa kabaka Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, Nebuzaladaani omukulu w'abambowa omuddu wa kabaka w'e Babulooni n'ajja e Yerusaalemi: