2 Kings 3:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoramu mutabani wa Akabu yafuuka kabaka ku Yisirayeli mu Samariya mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogwa kabaka Yosafati, kabaka wa Yuda; yafugira emyaka kkumi n'ebiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obwakabaka bwa Yekosafaati kabaka wa Yuda, Yekolaamu mutabani wa Akabu n’alya obwakabaka bwa Isirayiri e Samaliya, era n’afugira emyaka kkumi n’ebiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yekolaamu mutabani wa Akabu n'atandika okufuga Isiraeri mu Samaliya mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogwa Yekosafaati kabaka wa Yuda, n'afugira emyaka kkumi n'ebiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana nga Yehosafaati ye kabaka wa Buyudaaya, Yehoraamu mutabani wa Ahabu n'afuuka kabaka wa Yisirayeli, n'afugira mu Samariya emyaka kkumi n'ebiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yekolaamu mutabani wa Akabu n'atanula okufuga Isiraeri mu Samaliya mu mwaka ogw'ekkumi mu munaana ogwa Yekosafaati kabaka wa Yuda, n'afugira emyaka kkumi n'ebiri.