2 Kings 3:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka wa Yisirayeli n'agamba nti: “Tufudde! Omukama akuŋŋaanyizza bakabaka basatu, atuweeyo mu mikono gya Mowabu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka wa Isirayiri ne yeekanga nnyo. N’ayogera nti, “Zitusanze! Ffenna abasatu, Mukama atuwaddeyo mu mukono gwa Mowaabu?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka wa Isiraeri n'agamba nti Zitusanze! Mukama atukuŋŋaanyizza ffe bakabaka abasatu okutugabula mu mikono gya Mowaabu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka wa Yisirayeli n'agamba nti: “Zitusanze! Mukama atukuŋŋaanyizza ffe bakabaka abasatu okutugabula mu mikono gya Mowaabu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka wa Isiraeri n'ayogera nti Zitusanze! kubanga Mukama ayise bakabaka bano abasatu okukuŋŋaana okubagabula mu mukono gwa Mowaabu.