2 Kings 3:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yosafati n'abuuza nti: “Waliwo wano omulanzi w'Omukama twebuuze ew'Omukama nga tuyita mu ye?” Omu ku baweereza ba kabaka wa Yisirayeli n'ayanukula nti: “Wano waliwo Elisa mutabani wa Safati, eyafukiriranga Eliya amazzi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka Yekosafaati n’abuuza nti, “Tewali wano nnabbi wa Mukama tumwebuuzeeko?” Awo omu ku bakungu ba kabaka wa Isirayiri n’amuddamu nti, “Wano waliwo Erisa mutabani wa Safati. Ye yali omuweereza wa Eriya ow’oku mwanjo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yekosafaati n'abuuza nti Tewali wano nnabbi wa Mukama gwetuyinza kuyitamu okubuuza Mukama? Awo omu ku baddu ba kabaka wa Isiraeri n'addamu nti Waliwo wano Erisa mutabani wa Safati eyali omuddu wa Eriya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yehosafaati kabaka wa Buyudaaya n'abuuza nti: “Tewali wano mulanzi wa Mukama gwe tuyinza kuyitamu okwebuuza ku Mukama?” Omu ku bakungu ba kabaka wa Yisirayeli n'addamu nti: “Elisa mutabani wa Saafati eyali omuweereza wa Eliya, w'ali wano.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Yekosafaati n'ayogera nti Tewali wano nnabbi wa Mukama tubuulize mu ye eri Mukama? Awo omu ku baddu ba kabaka wa Isiraeri n'addamu n'ayogera nti Erisa mutabani wa Safati wano eyafukiriranga amazzi mu ngalo za Eriya.