2 Kings 3:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yosafati n'agamba nti: “Oyo alimu ekigambo ky'Omukama.” Kabaka wa Yisirayeli n'aserengetayo, ne Yosafati ne kabaka wa Edomu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yekosafaati n’ayogera nti, “Alina ekigambo okuva eri Mukama.” Awo Yekosafaati kabaka wa Yuda, awamu ne kabaka wa Isirayiri, ne kabaka wa Edomu ne baserengeta gy’ali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yekosafaati n'ayogera nti Ekigambo kya Mukama kiri naye. Awo kabaka wa Isiraeri ne Yekosafaati ne kabaka wa Edomu ne bagenda eri Erisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Yehosafaati n'agamba nti: “Katonda ayogera ng'ayita mu oyo.” Awo Kabaka owa Yisirayeli, ne Yehosafaati kabaka wa Buyudaaya, ne kabaka wa Edomu ne bagenda eri Elisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yekosafaati n'ayogera nti Ekigambo kya Mukama kiri naye. Awo kabaka wa Isiraeri ne Yekosafaati ne kabaka wa Edomu ne baserengeta gy'ali.