2 Kings 3:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Elisa n'agamba kabaka wa Yisirayeli nti: “Ogubadde nze naawe? Genda eri'abalanzi ba kitaawo n'eri abalanzi ba nnyoko.” Kabaka wa Yisirayeli n'addamu nti: “Nedda, kubanga Omukama akuŋŋaanyizza bakabaka bano abasatu abaweeyo mu mikono gya Mowabu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Erisa n’agamba kabaka wa Isirayiri nti, “Onnanga ki? Genda eri bannabbi ba kitaawo n’aba maama wo.” Kabaka wa Isirayiri n’amuddamu nti, “Nedda sijja kugendayo; kubanga kirabika nga Mukama atukuŋŋaanyiza ffensatule, okutuwaayo mu mukono gwa Mowaabu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Erisa n'agamba kabaka wa Isiraeri nti Nnina nkolagana ki naawe? Genda eri bannabbi bakitaawo ne bannabbi ba nnyoko. Kyokka kabaka wa Isiraeri n'addamu nti Nedda, sijja kugenda eyo, kubanga Mukama akuŋŋaanyizza bakabaka bano abasatu okubagabula mu mukono gwa Mowaabu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Elisa n'agamba kabaka wa Yisirayeli nti: “Nnina nkolagana ki naawe? Genda mu balaguzi ba kitaawo, ne mu balaguzi ba nnyoko.” Kyokka kabaka wa Yisirayeli n'addamu nti: “Nedda, sijja kugenda eyo, kubanga Mukama ye ayise bakabaka bano abasatu okubawaayo mu mikono gya Mowaabu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Erisa n'agamba kabaka wa Isiraeri nti Nfaayo ki eri ggwe? genda eri bannabbi ba kitaawo n'eri bannabbi ba nnyoko. Kabaka wa Isiraeri n'amugamba nti Nedda: kubanga Mukama ayise bakabaka bano abasatu okukuŋŋaana okubagabula mu mukono gwa Mowaabu.