2 Kings 3:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Elisa n'agamba nti: “Mazima Omukama w'Amagye gwe mpeereza nga mulamu, singa sikuba nti nzisaamu Yosafati kabaka wa Yuda ekitiibwa, sandikutunuddeko yadde okukufaako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Erisa n’ayogera nti, “Nga Mukama Katonda Ayinzabyonna gwe mpeereza bw’ali omulamu, singa nnali siwa Yekosafaati kabaka wa Yuda kitiibwa, sandikukubyeko munye ya liiso wadde okukusaako omwoyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Erisa n'ayogera nti Nga Mukama w'eggye bw'ali omulamu gwe nnyimirira mu maaso ge, singa si Yekosafaati kabaka wa Yuda ali wano, ggwe salikufuddeko era sandikulabye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Elisa n'agamba nti: “Mu mazima ga Katonda Nnannyinimagye era omulamu, gwe mpeereza, ddala singa si kafansonyi ke nkwatirwa Yehosafaati, kabaka wa Buyudaaya, sandikufuddeko, era sandikulabye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Erisa n'ayogera nti Nga Mukama w'eggye bw'ali omulamu gwe nnyimirira mu maaso ge, mazima singa sirowooza Yekosafaati kabaka wa Yuda okubaawo, sandikutunuulidde so sandikulabye.