2 Kings 3:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale mundeetere omutongooli.” Omutongooli bwe yalinga ayimba ku ntongooli omukono gw'Omukama nga gumujjako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kaakano, mundeetere omukubi w’ennanga.” Omukubi w’ennanga bwe yali ng’akyakuba ennanga, amaanyi ga Mukama ne gakka ku Erisa,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kale ndeetera omukubi w'ennanga. Awo olwatuuka omukubi w'ennanga bwe yakuba ennanga, amaanyi ga Mukama ne gajja ku Erisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kaakano, ndeetera omukubi w'ennanga.” Omukubi w'ennanga bwe yakuba, amaanyi ga Mukama ne gajja ku Elisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nno ndeetera omukubi w'ennanga. Awo olwatuuka omukubi w'ennanga bwe yakuba, omukono gwa Mukama ne gumujjako.