2 Kings 3:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Omukama agamba nti: ‘Temujja kulaba kibuyaga yadde enkuba, naye ekiwonvu kino kijja kujjula amazzi; mujja kunywa, mmwe n'amagana gammwe, n'ebisolo byammwe ebirala.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama agamba nti, ‘Temuulabe mbuyaga wadde enkuba, naye ekiwonvu kino kijja kujjula amazzi, era mmwe munaanywa, n’ente zammwe zinaanywa, n’ebisolo byammwe ebirala nabyo binywe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama ayongera n'agamba nti Temujja kulaba ku mbuyaga, era temujja kulaba ku nkuba. Naye ekiwonvu ekyo kinajjula amazzi, munywe mmwe n'ensolo zammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama ayongera n'agamba nti: “Temujja kulaba ku mbuyaga, era temujja kulaba ku nkuba. Naye ekiwonvu ekyo kinajjula amazzi, munywe mmwe n'ensolo zammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Temuulabe mbuyaga so temuulabe nkuba, naye ekiwonvu ekyo kinajjula amazzi: nammwe munaanywa, mmwe n'ebisibo byammwe n'ensolo zammwe.