2 Kings 3:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mujja kuwangula ebibuga byonna okuli ebigo, na buli kibuga ekinene, buli muti omulungi mujja kugutema, n'enzizi zonna ez'amazzi muzizibe, n'ennimiro zonna engimu mujja kuzoonoona nga muzibikka amayinja.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mulizikiriza buli kibuga ekyetooloddwa bbugwe na buli kibuga ekikulu, era mulitema buli muti omulungi, ne muziyiza n’enzizi okuleeta amazzi, era ne mwonoona buli nnimiro nga mugijjuza amayinja.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mujja kumenya buli kibuga ekiriko buggwe omugumu, na buli kibuga ekirabika obulungi, muteme buli muti omulungi, muzibe enzizi zonna ez'amazzi era mwonoone buli musiri omulungi nga mugujjuzamu amayinja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mujja kumenya buli kibuga ekiriko ekigo ekigumu, na buli kibuga ekirabika obulungi, ne mutema buli muti omulungi, ne muziba enzizi zonna ez'amazzi, era ne mujjuza amayinja mu buli musiri omulungi mugwonoone.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mulimenya buli kibuga ekiriko enkomera na buli kibuga ekironde ne mutema buli muti omulungi ne muziba enzizi zonna ez'amazzi ne mwonoona buli musiri omulungi n'amayinja.