2 Kings 3:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakola ekibi mu maaso g'Omukama, naye teyenkana nnyina ne kitaawe; ye ejjinja lya Baali kitaawe lye yali akoze yaliggyawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yakola ebibi mu maaso ga Mukama, newaakubadde nga teyatuuka ku bibi bya kitaawe ne nnyina. Yazikiriza n’empagi eya Baali kitaawe gye yali asimbye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi; naye teyenkana kitaawe na nnyina mukwonoona kubanga yaggyawo empagi ya Baali kitaawe gye yakola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'akola ebibi n'anyiiza Mukama, wabula teyali mubi kwenkana kitaawe, wadde okwenkana Yezebeeli nnyina, kubanga yamenyawo empagi ya lubaale Baali, kitaawe gye yakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi; naye obutafaanana kitaawe n'okufaanana nnyina: kubanga yaggyawo empagi ya Baali kitaawe gye yakola.