2 Kings 3:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku makya, ekitambiro we kitera okuweererezebwa, baalabira awo ng'amazzi gava ku ludda lwa Edomu; ensi n'ejjula amazzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo obudde bwe bwakya, mu kiseera eky’okuweerayo ssaddaaka, amazzi ne gakulukuta nga gava ku luuyi olwa Edomu, ensi n’ejjula amazzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka enkeera mu kiseera eky'okuwaayo ekitone, amazzi ne gajjura mu kitundu ekyo kyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enkeera, mu kiseera eky'okuwaayo ekitambiro, baalabira awo ng'amazzi gajja nga gava ku ludda lwa Edomu, amazzi ne gajjula mu kitundu ekyo kyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka enkya mu kiseera eky'okuwaayo ekitone, kale, laba, amazzi ne gajja nga gafuluma mu kkubo ery'e Edomu, ensi n'ejjula amazzi.