2 Kings 3:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abamowabu bonna bwe baawulira nti bakabaka bambuse okubalwanyisa, ne bakunga bonna abeesibye ebyokulwanyisa, abato n'abakulu, ne bayimirira ku nsalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abamowaabu bonna bwe baawulira nga bakabaka babalumbye okulwana nabo, buli musajja, omuto n’omukulu abaali basobola okwambala ebyokulwanyisa, ne bayitibwa okugenda okutabaala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abamowaabu bonna bwe baawulira nga bakabaka abasatu bazze okubalwanyisa, ne bakuŋŋaanya bonna abakulu n'abato abaali bayinza okubagalira eby'okulwanyisa, ne baleetebwa ku nsalo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abamowaabu bonna bwe baawulira nga bakabaka abasatu bazze okubalwanyisa, ne bakuŋŋaanya bonna abakulu n'abato abaali bayinza okubagalira ebyokulwanyisa, ne baleetebwa ku nsalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abamowaabu bonna bwe baawulira bakabaka nga bambuse okulwana nabo, ne bakuŋŋaana bonna abaayinza okwambala ebyokulwanyisa n'okukirawo, ne bayimirira ku mpero.