2 Kings 3:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baazuukuka ku makya, enjuba yali ekuba ku mazzi, ku Bamowabu abaali emitala ng'amazzi gabafaananira ng'omusaayi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enkeera enjuba bwe yayaka ku mazzi, Abamowaabu ne balowooza nti amazzi mamyufu kubanga gaabalabikira ng’omusaayi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abamowaabu bwe baagolokoka enkeera mu makya, enjuba n'eyaka ku mazzi agaboolekedde, ne balaba nga gamyuse ng'omusaayi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abamowaabu bwe baagolokoka enkeera mu makya, enjuba n'eyaka ku mazzi agaboolekedde, ne balaba nga gamyuse ng'omusaayi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne bagolokoka enkya mu makya, enjuba n'eyaka ku mazzi, Abamowaabu ne balaba amazzi agaboolekedde nga gamyuse ng'omusaayi: