2 Kings 3:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne bagamba nti: “Ogwo musaayi! Bakabaka balwanaganye bokka na bokka ne battiŋŋana! Mowabu, genda weenyagire!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bagamba nti, “Guno musaayi! Kirabika nga bakabaka baalwanye bokka ne bokka, ne battiŋŋana, kale Mowaabu mugwe ku munyago.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abamowaabu ne boogera nti Guno musaayi! Mazima bakabaka baalwanaganye, abantu baabwe bonna ne battiŋŋana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bagamba nti: “Guno musaayi! Mazima bakabaka baalwanaganye, abantu baabwe bonna ne battiŋŋana. Abange Abamowaabu, mugire tugende ku munyago!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo ne boogera nti Guno gwe musaayi: bakabaka tebalemye kuzikirizibwa, era basse buli muntu munne: kale nno, Mowaabu, mugwe ku munyago.