2 Kings 3:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bajja mu lusiisira lwa Yisirayeli. Abantu ba Yisirayeli ne basituka, ne balwanyisa Abamowabu okutuusa bali lwe badduka. Abantu ba Yisirayeli ne bazinda Mowabu, ne batta Abamowabu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Abamowaabu bwe baali nga baakayingira mu nkambi y’Abayisirayiri, amangwago Abayisirayiri ne batandika okulwana nabo, okutuusa Abamowaabu lwe badduka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe baatuka ku lusiisira lwa Isiraeri, Abaisiraeri ne basituka ne bakuba Abamowaabu ne babatwala entyagi. Abamowaabu ne badduka, Abaisiraeri ne babawondera okubatuusiza ddala mu nsi yaabwe nga bagenda babatta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe baatuuka ku lusiisira lwa Yisirayeli, Abayisirayeli ne basituka ne bakuba Abamowaabu ne babatwala misinde. Abamowaabu ne badduka, Abayisirayeli ne babawondera okubatuusiza ddala mu nsi yaabwe nga bagenda babatta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baatuka mu lusiisira lwa Isiraeri, Abaisiraeri ne bagolokoka ne bakuba Abamowaabu n'okudduka ne badduka mu maaso gaabwe: ne beeyongerayo mu nsi nga bakuba Abamowaabu.