2 Kings 3:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebibuga ne babizikiriza; buli muntu yakasuka ejjinja mu nnimiro ennungi, ne bazijjuzaamu amayinja; enzizi zonna ne baziziba, n'emiti gyonna emirungi ne bagitema. Ekibuga Kiri-Kareseti kyokka kye kyasigalawo n'amayinja gaakyo. Naye abalwanyisa envuumuulo baakyetooloola nakyo ne bakirumba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamenyaamenya ebibuga by’Abamowaabu, ne bakanyuga amayinja ku buli kibanja ekirungi okutuusa lwe gaakolangako entuumo; ne baziba enzizi zonna ez’amazzi, ne batema na buli muti omulungi. Kirukalesesi kye kifo kyokka ekyali kitalumbiddwa, naye oluvannyuma abasajja ab’envuumuulo ne bakirumba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaisiraeri ne bazikirizza ebibuga, buli omu n'akasuka ejjinja mu bulime obulungi okutuusa nga babujjuzza amayinja, ne baziba enzizi zonna ez'amazzi, ne batema emiti gyonna emirungi. Mu Kirukaleseesi mwokka mwe baleka amayinja gaamu, naye ab'envuumuulo ne bakyetooloola, ne bakiwangula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli ne bazikiriza ebibuga, buli omu n'akasuka ejjinja mu bulime obulungi okutuusa nga babujjuzza amayinja. Ne baziba enzizi zonna ez'amazzi, ne batema emiti gyonna emirungi. Mu Kiruhareseti mwokka mwe baaleka amayinja gaamu, kyokka ab'envuumuulo ne bakyetooloola, ne bakiwangula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamenyamenya ebibuga; n'awali omusiri omulungi ogw'ettaka ne bakasuka buli muntu ejjinja lye ne wajjula; ne baziba enzizi zonna ez'amazzi, ne batema emiti gyonna emirungi okutuusa lwe baasigazaawo mu Kirukalesesi amayinja gamu gokka; naye ab'envuumuulo ne batambulatambula mu nsi ne bagikuba.