2 Kings 3:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka wa Mowabu bwe yalaba ng'olutalo lumwefuukidde, n'atwala abasajja lusanvu abakwasi b'ebitala, bawaguze batuuke ku kabaka wa Edomu, ne balemwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka wa Mowaabu bwe yalaba ng’olutalo lumugendedde bubi, n’atwala abasajja ab’ebitala lusanvu, ne bagenda naye okulumba kabaka wa Edomu, kyokka ne balemelerwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka wa Mowaabu bwe yalaba ng'olutalo lumugendedde bubi, n'atwala abasajja lusanvu (700) abalwanyisa ebitala, bawaguze batuuke ku kabaka wa Edomu, kyokka ne batayinza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka wa Mowaabu bwe yalaba ng'olutalo lumugendedde bubi, n'atwala abasajja lusanvu abalwanyisa ebitala, bawaguze batuuke ku kabaka wa Edomu, kyokka ne batayinza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka wa Mowaabu bwe yalaba olutalo nga lumuyingiridde, n'atwala abasajja lusanvu abaasowolanga ebitala, okuwaguza okutuuka eri kabaka w’e Edomu: naye ne batayinza.