2 Kings 3:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mesa, kabaka wa Mowabu yali mulunzi wa ndiga; yalinanga okuwa kabaka wa Yisirayeli akasiriivu kalamba ak'endiga, n'ebyoya by'endiga ennume akasiriivu kamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mesa Kabaka wa Mowaabu yalundanga endiga, era yalina omutemwa ogw’okuwangayo abaana b’endiga emitwalo kkumi, n’ebyoya by’endiga ennume emitwalo kkumi eri Akabu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mesa kabaka wa Mowaabu yali musumba wa ndiga; era buli mwaka yawangayo eri kabaka wa Isiraeri ebyoya by'abaana b'endiga akasiriivu kamu (100,000) n'eby'endiga ennume nabyo akasiriivu kamu (100,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Meesa kabaka wa Mowaabu yali mulunzi wa ndiga. Buli mwaka yawangayo eri kabaka wa Yisirayeli omusolo gwa ndiga ento emitwalo kkumi, n'ebyoya by'endiga ebyavanga ku ndiga ennume emitwalo kkumi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Mesa kabaka wa Mowaabu yali musumba wa ndiga; n'awangayo eri kabaka wa Isiraeri ebyoya by'abaana b'endiga kasiriivu n'eby'endiga ennume kasiriivu.