2 Kings 3:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo kabaka Yoramu n'ava mu Samariya, n'agenda akunga Yisirayeli yenna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo mu biro ebyo kabaka Yekolaamu n’asitula okuva e Samaliya, n’akunga Isirayiri yenna okugenda naye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka Yekolaamu n'ava mu Samaliya, n'akuŋŋaanya eggye lye mu Isiraeri yonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Yehoraamu n'ava mu Samariya, n'akuŋŋaanya eggye lye mu Yisirayeli yonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka Yekolaamu n'ava mu Samaliya mu biro ebyo, n'ayolesa Isiraeri yenna.