2 Kings 3:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'atumira Yosafati kabaka wa Yuda nti: “Kabaka wa Mowabu anjeemedde. Oyagala okugenda nange tutabaale Mowabu?” Ye n'ayanukula nti: “Nzija kujja, anti nze naawe ffe bamu, abantu bo n'abantu bange be bamu, embalaasi zange n'embalaasi zo ze zimu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’atumira ne Yekosafaati kabaka wa Yuda nti, “Kabaka wa Mowaabu anjeemedde, onooyinza okumbeera tumulwanyise?” Yekosafaati n’amuddamu nti, “Nnaagenda naawe, kubanga nze ndi nga bw’oli, era abantu bange be bantu bo, n’embalaasi zange ze zizo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'atumira Yekosafaati kabaka wa Yuda n'agamba nti Kabaka wa Mowaabu anjeemedde. Onoonneegattako mu lutalo okumulwanyisa? Kabaka Yekosafaati n'addamu nti Weewaawo, nja kukwegattako. Nze naawe ffe bamu, abantu bange be bamu n'ababo, era n'embalaasi zange ze zimu n'ezizo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'atumira Yehosafaati kabaka wa Buyudaaya n'agamba nti: “Kabaka wa Mowaabu anjeemedde. Ononneegattako mu lutalo okumulwanyisa?” Kabaka Yehosafaati n'addamu nti: “Weewaawo, nja kukwegattako. Nze naawe ffe bamu, abantu bange be bamu n'ababo, era n'embalaasi zange ze zimu n'ezizo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'agenda n'atumira Yekosafaati kabaka wa Yuda ng'ayogera nti Kabaka wa Mowaabu anjeemedde: onootabaala Mowaabu wamu nange? N'ayogera nti Naayambuka: nze nninga ggwe bw'oli, abantu bange ng'abantu bo, embalaasi zange ng'embalaasi zo.