2 Kings 3:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka wa Yisirayeli n'asitula ne kabaka wa Yuda ne kabaka wa Edomu; ne beekooloobya okumala ennaku musanvu; eggye ne liggweebwako amazzi, nga tebakyalina gaabwe na ga kuwa bisolo bye baali nabyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka wa Isirayiri, n’asitukira wamu ne kabaka wa Yuda ne kabaka wa Edomu ne bagenda mu lutalo. Ne batambula olugendo lwa nnaku musanvu, n’oluvannyuma ne beesanga ng’eggye amazzi galiweddeko, nga n’ebisolo byabwe tebirina wadde ettondo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka wa Isiraeri n'agenda wamu ne kabaka wa Yuda ne kabaka wa Edomu. Ne batambula olugendo lwa nnaku musanvu nga bagenda beetooloola. Ne wataba mazzi ga kuwa wadde ensolo ze baali nazo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka wa Yisirayeli n'agenda wamu ne kabaka wa Buyudaaya, ne kabaka wa Edomu. Ne batambula olugendo lwa nnaku musanvu nga bagenda beetooloola. Ne wataba mazzi ga kuwa ggye wadde ensolo ze baali nazo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka wa Isiraeri n'agenda ne kabaka wa Yuda ne kabaka wa Edomu: ne beetooloola olugendo lwa nnaku musanvu: so nga tewaali mazzi ga ggye newakubadde ag'ensolo ez'abagoberera.