2 Kings 4:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omu ku bakazi ba bannakibiina ky'abalanzi yawanjagira Elisa nti: “Omuweereza wo baze wange yafa; naawe omanyi nti omuweereza wo yali atya Omukama. Kati omuwozi wuuno azze atwale batabani bange bagende babe baddu be.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo olwatuuka ne wabaawo nnamwandu, eyali afumbiddwa omu ku abo abaali mu kibiina kya bannabbi, n’agenda eri Erisa ng’akaaba n’amugamba nti, “Omuddu wo, baze yafa, era omanyi nga omuddu wo yatyanga Mukama. Naye kaakano eyali amubanja azze, ng’ayagala okutwala batabani bange okubafuula abaddu be.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omukazi omu ow'oku bakazi b'abaana ba bannabbi n'awanjagira Erisa ng'agamba nti Omuweereza wo, baze yafa. Era omanyi omuweereza wo oyo nga bwe yali assamu ennyo Mukama ekitiibwa. Naye kaakano omuntu eyali amubanja azze okutwala abaana bange bombi abafuule abaddu be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo nnamwandu w'omu ku b'ekibiina ky'abalanzi n'akaabirira Elisa ng'agamba nti: “Omuweereza wo, baze, yafa. Era omanyi omuweereza wo oyo nga bwe yali assaamu ennyo Mukama ekitiibwa. Naye kaakano omuntu eyali amubanja azze okutwala abaana bange bombi abafuule abaddu be.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omukazi omu ow'oku bakazi b'abaana ba bannabbi n'ayogerera waggulu eri Erisa ng'ayogera nti Omuddu wo baze yafa: era omanyi ng’omuddu wo yatyanga Mukama: era ow'ebbanja azze okwetwalira abaana bange bombi okuba abaddu.