2 Kings 4:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Elisa n'agamba omuweereza nti: “Mugambe nti: ‘Wuuno otutawaanidde okutulabirira mu byonna, oyagala nkukolere ki? Olina ekizibu kyonna kye wandyagadde nkwogerereyo ewa kabaka oba ew'omuduumizi w'eggye?’ ” N'ayanukula nti: “Amaka gange gali wakati mu bantu bange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Erisa n’agamba Gekazi nti, “Mugambe nti, ‘Otulabiridde bulungi nnyo. Kaakano kiki kyewandyagadde kikukolerwe? Wandyagadde tukwogerere eri Kabaka oba ew’omuduumizi w’eggye ku nsonga yonna?’ ” N’amuddamu nti, “Mbeera mu bantu bange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Erisa n'agamba Gekazi nti Mugambe nti Otutawaanidde nnyo n'otulabirira okwenkana awo. Olina ky'oyagala naffe tukukolere? Oyagala tubeeko ekirungi kye tukwogerera ewa Kabaka oba ew'omukulu w'eggye? Omukazi n'addamu nti Siriiko kyeneetaaga kubanga ndi wano mu bantu bange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Elisa n'agamba Gehazi nti: “Mugambe nti: ‘Otutawaanidde nnyo n'otulabirira okwenkana awo. Olina ky'oyagala naffe tukukolere? Oyagala tubeeko ekirungi kye tukwogerera ewa Kabaka oba ew'omukulu w'eggye?’ ” Omukazi n'addamu nti: “Siriiko kye njula, kubanga ndi wano mu bantu bange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amugamba nti Mugambe nno nti Laba, watujjanjaba okujjanjaba okwenkana awo; kiki ekinaaba kikukolerwa? oyagala okwogererwa eri kabaka oba eri omukulu w'eggye? N'addamu nti Ntuula mu bantu bange nze.