2 Kings 4:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Elisa n'amugamba nti: “Mu budde nga buno mu mwaka ogujja oliba olera omwana wa bulenzi.” Ye n'ayanukula nti: “Mukama wange, muntu wa Katonda, nkwegayiridde, leka kulimba muzaana wo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Erisa n’amugamba nti, “Omwaka ogujja, mu biro ng’ebya kaakano oliwambaatira omwana owoobulenzi.” Omukyala n’amuddamu nti, “Nedda mukama wange, tolimba muweereza wo, ayi omusajja wa Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Erisa n'amugamba nti Mu kiseera nga kino omwaka ogujja, oliba olera omwana owuwo ow'obulenzi. Omukazi n'addamu nti Nedda, mukama wange, ggwe oli musajja wa Katonda, tolimba muzaana wo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Elisa n'amugamba nti: “Mu kiseera nga kino omwaka ogujja, oliba olera omwana owuwo ow'obulenzi.” Omukazi n'addamu nti: “Nedda mukama wange, oli musajja wa Katonda, tonguyaaguya nze omuweereza wo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Mu kiseera kino ebiro bwe biridda, oliwambaatira omwana ow'obulenzi. N'ayogera nti Nedda, mukama wange, ggwe omusajja wa Katonda, tolimba muzaana wo.