2 Kings 4:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwana n'asuumuka. Olumu yagenda eri kitaawe gye yali n'abakesa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omwana n’akula, naye olunaku lumu n’addukira ewa kitaawe eyali mu nnimiro n’abakunguzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka omwana bwe yakula, lumu n'agenda eri kitaawe eyali mu nnimiro ng'ali n'abakunguzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Lwali lumu omwana oyo ng'akuzeemu, n'agenda okusanga kitaawe mu nnimiro gye yali awamu n'abakunguzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omwana bwe yakula olunaku lwali lumu n'afuluma n'agenda eri kitaawe eri abakunguzi.