2 Kings 4:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Elisa n'amugamba nti: “Oyagala nkukolere ki? Mbuulira. Mu nnyumba yo olinayo kiki?” N'ayanukula nti: “Muzaana wo, mu nnyumba sirinaamu kantu wabula akasumbi k'omuzigo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Erisa n’amuddamu nti, “Oyagala nkuyambe ntya? Ntegeeza, olina ki mu nnyumba?” N’amugamba nti, “Omuweereza wo ky’alinawo kyokka mu nnyumba twe tufuta otutono ennyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Erisa n'amubuuza nti Oyagala nkukolere ki? Mbuulira: olina ki mu nnyumba yo? Nnamwandu n'addamu nti Omuzaana wo talina kintu okujjako akasumbi k'amafuta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Elisa n'amubuuza nti: “Oyagala nkukolere ki? Mbulira, olinayo ki mu nnyumba yo?” Omukazi n'addamu nti: “Nze omuweereza wo, sirinaayo kantu na kamu, okuggyako akasumbi akalimu omuzigo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Erisa n'amugamba nti Naakukolera ki? mbuulira: olina ki mu nnyumba? N'ayogera nti Omuzaana wo talina kintu mu nnyumba wabula akasumbi ak'amafuta.