2 Kings 4:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuweereza n'amutwala, n'amutuusa ewa nnyina. N'atuula ku mubiri gwa nnyina okutuusa mu ttuntu, n'afa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omuddu n’amusitula n’amutwala eri nnyina, omwana n’atuula ku mubiri gwa nnyina okutuusa essaawa ey’omu ttuntu n’oluvannyuma n’afa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuweereza n'amusitula n'amutwala ewa nnyina. Nnyina n'amulera. Bwe bwatuuka mu ttuntu, omwana n'afa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuweereza n'amusitula n'amutwala ewa nnyina. Nnyina n'amulera. Bwe bwatuuka mu ttuntu, omwana n'afa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yamutwala n'amutuusa eri nnyina, n'atuula ku maviivi ge okutuusa ettuntu n'alyoka afa.