2 Kings 4:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ayita bba n'amugamba nti: “Nkwegayiridde, mpa omu ku baweereza n'endogoyi, nzirukaneko ew'omuntu wa Katonda nkomewo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’atumira bba ng’agamba nti, “Mpayo omuddu omu n’endogoyi emu ŋŋende mangu ew’omusajja wa Katonda, nkomewo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayita bba, n'agamba nti Nkwegayiridde, mpeereza omu ku bavubuka, n'emu ku ndogoyi ŋŋende bunnambiro ew'omusajja wa Katonda, nkomewo mangu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ayita bba, n'agamba nti: “Nkwegayiridde, mpeereza omu ku bavubuka, n'emu ku ndogoyi, ŋŋende bunnambiro ew'omusajja wa Katonda, nkomewo mangu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayita bba n'ayogera nti Nkwegayiridde, mpeereza omu ku baddu n'emu ku ndogoyi ŋŋende mbiro eri omusajja wa Katonda nkomewo.