2 Kings 4:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bba n'amubuuza nti: “Ekikutwala gy'ali olwa leero kiki? Si lunaku lwa Kuboneka kwa Mwezi yadde Sabbaato.” N'ayanukula nti: “Tofaayo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’amubuuza nti, “Kiki ekikutwala gy’ali leero? Si lunaku lwa mwezi ogwakaboneka wadde olwa Ssabbiiti.” Omukazi n’amuddamu nti, “Teweeraliikirira, kiri bulungi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukazi n'atandiika endogoyi, n'agamba omuddu nti, Goba endogoyi eyanguwe. Totta ku bigere okuggyako nga nze nkugambye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bba n'amubuuza nti: “Kiki ekikwagaza okugenda gy'ali olwaleero nga si lunaku lukulu lwa kuboneka kwa mwezi, wadde olwa Sabbaato?” Omukazi n'addamu nti: “Tofaayo, naye ndeka ŋŋende.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Kiki ekikwagaza okugenda gy'ali leero? si lunaku lwa mwezi ogwakaboneka so si ssabbiiti. N'ayogera nti Mirembe.