2 Kings 4:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agenda, n'atuuka awali omuntu wa Katonda ku lusozi Karumeli. Omuntu wa Katonda n'amulengerera walako ng'ajja, n'agamba Gekazi omuweereza we nti: “Oyo si ye mukazi Omusunemu?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne basitula, n’agenda eri omusajja wa Katonda ku Lusozi Kalumeeri. Omusajja wa Katonda bwe yamuleengera ng’akyali walako, n’agamba omuddu we Gekazi nti, “Laba, Omusunammu wuuli!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'agenda n'atuuka eri omusajja wa Katonda ku lusozi Kalumeeri. Omusajja wa Katonda bwe yalengera omukazi oyo ng'akyali wala, n'agamba Gekazi omuddu we nti Laba omukazi Omusunammu wuuyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'atyo n'agenda n'atuuka ew'omusajja wa Katonda ku Lusozi Karumeeli. Omusajja wa Katonda bwe yalengera omukazi oyo ng'akyali wala, n'agamba Gehazi omuweereza we nti: “Laba, omukazi Omusunammu wuuyo!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'agenda n'atuuka eri omusajja wa Katonda ku lusozi Kalumeeri. Awo olwatuuka omusajja wa Katonda bwe yamulengera ng'akyali wala, n'agamba Gekazi omuddu we nti Laba, Omusunammu wuuyo: