2 Kings 4:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yatuuka awaali omuntu wa Katonda ku lusozi, n'amuvumbagira ebigere. Gekazi n'ajja okumusikawo; omuntu wa Katonda n'amugamba nti: “Muleke; omutima gwe gulimu ennyiike, ate Omukama ankisizza, tantegeezezza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yatuuka okumpi n’olusozi awaali omusajja wa Katonda, n’agwa wansi ne yeenyweza ku bigere by’omusajja wa Katonda. Amangwago Gekazi n’ajja ng’ayagala okumugobawo, naye omusajja wa Katonda n’amugamba nti, “Muleke! Kubanga ali mu nnaku nnyingi nnyo, ate nga Mukama tannambikkulira nsonga, wadde okugintegeeza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyokka bwe yatuuka ku lusozi omusajja wa Katonda w'ali, n'amukwata ku bigere. Gekazi n'asembera okumusikawo, naye omusajja wa Katonda n'agamba nti Muleke, kubanga omutima gwe munakuwavu. Ate Mukama akinkisizza n'atambuulira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka bwe yatuuka ku lusozi omusajja wa Katonda w'ali, n'amukwata ku bigere. Gehazi n'asembera okumusikawo, naye omusajja wa Katonda n'agamba nti: “Muleke, kubanga omutima gwe munakuwavu. Ate Mukama akinkisizza n'atambuulira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yatuuka eri omusajja wa Katonda ku lusozi, n'amukwata ku bigere. Gekazi n'asembera okumusindika; naye omusajja wa Katonda n'ayogera nti Muleke: kubanga emmeeme ye enyiikadde munda mu ye; era Mukama akinkisizza so tambuulidde.