2 Kings 4:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Elisa n'agamba Gekazi nti: “Weesibe ekimyu mu kiwato; kwata omuggo gwange mu mukono gwo ogende. Bwe wabaawo omuntu akusisinkana, tomubuuza; bwe wabaawo akulamusa, ggwe tomwanukula. Ojja kussa omuggo ggwange ku kyenyi ky'omwana.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Erisa n’agamba Gekazi nti, “Weesibe ekimyu, okwate omuggo gwange otambule mangu nnyo nga bw’osobola. Bw’onoosisinkana omuntu yenna mu kkubo tomulamusa, ate bw’akulamusa tomwanukula. Ddira omuggo gwange ogugalamize ku kyenyi ky’omwana.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Erisa n'agamba Gekazi nti Yanguwa mangu okwate omuggo gwange, ogende. Bw'osanga omuntu mu kkubo, tomulamusa. Era bwe wabaawo akulamusa, tomuddamu. Bw'onootuuka omuggo gwange oguteeke ku mwana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Elisa n'agamba Gehazi nti: “Yanguwa mangu okwate omuggo gwange, ogende. Bw'osanga omuntu mu kkubo, tomulamusa. Era bwe wabaawo akulamusa, tomuddamu. Bw'onootuuka, omuggo gwange oguteeke ku mwana.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'agamba Gekazi nti Weesibe ekimyu oddire omuggo gwange mu mukono gwo ogende: bw'onoosanga omuntu yenna tomulamusa; era omuntu yenna bw'anaakulamusa, tomuddamu: oteeke omuggo gwange ku maaso g'omwana.