2 Kings 4:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amugamba nti: “Genda mu baliraanwa bo weeyazikeyo ensumbi zonna z'osobola okufuna. Tosaba ntono.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Erisa n’amugamba nti, “Genda mu baliraanwa bo bonna obeeyazikeko ebintu ebyereere, nga bingi ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Erisa n'amugamba nti Genda mu banno weyazike ebintu ebyereere bingiko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Elisa n'agamba nti: “Genda weeyazike mu banno bonna ab'omuliraano ebintu ebikalu ebiwerako, mw'osobola okuttululira omuzigo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'ayogera nti Genda weeyazike ebintu ebweru mu banno bonna, ebintu ebyereere; weeyazike bingiko.