2 Kings 4:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nnyina w'omwana n'agamba nti: “Mazima Omukama nga mulamu, naawe ggwe ng'oli mulamu, sijja kukuta.” Elisa n'asituka n'amugoberera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nnyina w’omwana n’agamba nti, “Nga Mukama bw’ali omulamu, era nga naawe bw’oli omulamu, sijja kukuleka mabega.” Erisa n’asituka n’amugoberera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnyina w'omwana n'agamba nti Mu mazima, nga Mukama bw'ali omulamu, era nga naawe bw'oli omulamu, sijja kukuvaako. Erisa n'asituka, n'agenda naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnyina w'omwana n'agamba nti: “Mu mazima, nga Mukama bw'ali omulamu, era nga naawe bw'oli omulamu, sijja kukuvaako.” Elisa n'asituka, n'agenda naye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nnyina w'omwana n'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu n'emmeeme yo nga bw'eri ennamu, sijja kukuleka. N'agolokoka n'amugoberera.