2 Kings 4:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gekazi yali yabasooseeyo dda, ng'amaze n'okussa omuggo mu kyenyi ky'omwana; kyokka tewaali ddoboozi yadde akanyego. N'akomawo okumusisinkana, n'amubuulira nti: “Omwana tazuukuse.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Gekazi ye n’abakulemberamu, n’agenda n’ateeka omuggo ku kyenyi ky’omulenzi, naye ne wataba kanyego newaakubadde okuddamu. Amangwago Gekazi n’addayo n’asisinkana Erisa, n’amutegeeza nti, “Omwana tagolokose.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Gekazi n'ayanguwa n'abasokayo. N'ateeka omuggo ku maaso g'omwana. Naye ne wataba ddoboozi newakubadde okuwulira. Kyeyava akomawo n'abasisinkana, n'agamba Erisa nti, Omwana tazuukuse.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gehazi n'agenda n'abasookayo, n'ateeka omuggo ku mwana, naye ne wataba kanyego, wadde akakuba. N'addayo okusisinkana Elisa, n'amutegeeza nti: “Omwana tazuukuse.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Gekazi n'ayitamu n'abakulembera n'ateeka omuggo ku maaso g'omwana; naye ne wataba ddoboozi newakubadde okuwulira. Kyeyava akomawo okumusisinkana, n'amubuulira nti Omwana tazuukuse.