2 Kings 4:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'alinnya ku kitanda, n'agalamira ku mwana bulambalamba, n'assa omumwa gwe ku gw'omwana, amaaso ge ku maaso g'omwana, n'emikono gye ku mikono gy'omwana. Bwe yeevuunika ku mwana, omubiri gw'omwana n'egubuguma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alinnya waggulu ku kitanda n’agalamira ku mulambo, omumwa ku mumwa, amaaso ku maaso, n’emikono ku mikono eby’omulambo. Mu kiseera ekyo ng’akyagugalamiddeko ne gutandika okubuguumirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agalamira ku mwana n'ateeka akamwa ke ku kamwa k'omwana, n'amaaso ge ku maaso g'omwana, n'ebibatu bye ku bibatu by'omwana, n'amwegololerako, omubiri gw'omwana n'egubuguma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agenda ku kitanda, n'agalamira ku mwana, n'ateeka akamwa ke ku kamwa k'omwana, n'amaaso ge ku maaso g'omwana, n'ebibatu bye ku bibatu by'omwana, ne yeegololera ku ye, omubiri gw'omwana ne gubuguma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'alinnya n'agalamira ku mwana n'ateeka akamwa ke ku kamwa ke n’amaaso ge ku maaso ge n'emikono gye ku mikono gye: ne yeegololera ku ye; omubiri gw'omwana ne gubuguma.