2 Kings 4:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Elisa n'amuvaako, n'atambulatambula mu kisenge, nga bw'agenda bw'adda, oluvannyuma n'addako ku kitanda, n'agalamira ku mwana. Omwana n'ayasimula emirundi musanvu, n'azibula amaaso.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Erisa n’ayimuka, n’atambulatambula mu kisenge, n’oluvannyuma n’addamu n’agalamira ku mulambo. Omulenzi n’ayasimula emirundi musanvu, omulenzi n’azibula amaaso ge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Erisa n'asooka asitukawo, n'atambulatambula mu kisenge, n'addayo ne yeegolorera ku mwana. Omwana n'ayasimula emirundi musanvu, n'azibula amaaso.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Elisa n'asooka asitukawo, n'atambulatambula mu kisenge, n'addayo ne yeegololera ku mwana. Omwana n'ayasimula emirundi musanvu, n'azibula amaaso.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'akomawo n’atambula mu nnyumba omulundi ogumu eruuyi n'omulundi ogumu eruuyi; n'alinnya ne yeegololera ku ye: omwana n'ayasimula emirundi musanvu, omwana n'azibula amaaso.