2 Kings 4:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ayita Gekazi n'amugamba nti: “Yita omukazi Omusunemu.” N'amuyita. Bwe yayingira n'amugamba nti: “Kwako mutabani wo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Erisa n’ayita Gekazi n’amugamba nti, “Yita Omusunammu oyo.” N’amuyita. Omusunammu bwe yajja n’amugamba nti, “Situla omwana wo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Erisa n'ayita Gekazi n'amugamba nti Yita Omusunammu oyo. Gekazi n'amuyita. Omukazi bwe yayingira Erisa n'amugamba nti Omwana wo wuuyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Elisa n'ayita Gehazi n'amugamba nti: “Yita Omusunammu oyo.” Gehazi n'amuyita. Omukazi bwe yayingira, Elisa n'amugamba nti: “Omwana wo wuuyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayita Gekazi n'ayogera nti Muyite Omusunammu oyo. Awo n'amuyita. Awo ng'ayingidde gy'ali n'ayogera nti Situla omwana wo.