2 Kings 4:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Elisa n'addayo e Gilugali. Ekitundu ekyo kyali kiguddemu enjala. Bannakibiina ky'abalanzi baali bakuŋŋaanidde w'ali. N'agamba omuweereza we nti: “Ssaako entamu ennene ofumbire bannakibiina ky'abalanzi enva.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma, Erisa ng’azeeyo e Girugaali, ate nga mu kiseera kye kimu enjala egudde mu nsi, ekibiina kya bannabbi ne bakuŋŋaanira ewuwe. N’agamba omuweereza we nti, “Abaana ba bannabbi bafumbireyo enva mu ntamu ennene.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Erisa n'agenda nate e Girugaali ng'enjala ebunye mu nsi. Abaana ba bannabbi ne batuula mu maaso ge n'alagira abaddu be nti Muteekeko entamu ennene, mubafumbire eby'okulya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Elisa n'akomawo e Gilugaali ng'enjala ebunye ensi. Ab'ekibiina ky'abalanzi bwe baali batudde mu maaso ge, n'agamba omuweereza we nti: “Teekako entamu ennene obafumbire ebyokulya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Erisa n'ajja nate e Girugaali: ne waba enjala mu nsi; abaana ba bannabbi ne batuula mu maaso ge: n'agamba omuddu we nti Teekako entamu ennene, ofumbire abaana ba bannabbi enva.