2 Kings 4:39 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omu n'afuluma n'alaga ku ttale anogeyo ebivaavava; n'asangayo omuzabbibu ogw'ettale, n'anogako entengo, n'ajjuza ekikondoolo kye. Bwe yakomawo n'asalaasalira mu ntamu y'enva. Baali tebabitegedde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omu ku bo n’alaga mu nnimiro n’anoga amaboga, n’alaba n’omuzabbibu ogw’omu nsiko, n’anoga ku bibala byagwo ebiwera, n’assa mu lugoye lwe. N’addayo n’abisalirasalira mu ntamu ey’enva. Teyamanya nga bye yanoga birimu akabi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omu n'afuluma n'agenda ku ttale okunoga amaboga, n'asanga omuzabbibu ogw'omu nsiko, n'anogako amaboga ag'omu nsiko n'ajjuza olugoye lwe, n'ajja n'agasalirasalira mu ntamu erimu eby'okulya, naye nga tebagamanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omu n'ava awo n'agenda ku ttale okunogayo emiboga. N'asanga ekiryo eky'omu nsiko, n'anogako ebibala ebiri ng'emiboga, n'ajjuza ekikondoolo, n'ajja n'abisalaasalira mu ntamu erimu ebyokulya, nga tebabimanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omu n'afuluma n'agenda ku ttale okunoga amaboga, n'asanga omuzabbibu ogw'omu nsiko, n'anogako amaboga ag'omu nsiko n'ajjuza olugoye lwe, n'ajja n'agatyemulatyemulira mu ntamu erimu enva: kubanga tebaagamanya.