2 Kings 4:41 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Elisa n'agamba nti: “Muleeteeyo obuwunga.” N'abuyiwa mu ntamu, n'agamba nti: “Senera abantu balye.” Mu ntamu mwali temukyali butwa na kamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Erisa n’agamba nti, “Mundeetereyo obuwunga.” Ne babumuleetera n’abuteeka mu ntamu y’enva, n’abagamba nti, “Mugabule abantu balye.” Ne wataba kabi mu ntamu y’enva.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Erisa n'abagamba nti Kale mundeetere obutta, n'abusuula mu ntamu; n'alyoka abagamba nti Mujjulire abantu eby'okulya. Eby'okulya ne birongooka. Erisa n'agamba omuddu we nti, Abantu bawe balye. Omuddu we n'amuddamu nti, Owa, buno bwokka bwemba nteeka mu maaso g'abasajja ekikumi (100)!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Elisa n'agamba nti: “Muleeteeyo ku buwunga!” N'abuyiwa mu ntamu. N'agamba nti: “Mubajjulire balye!” Ebyokulya ne birongooka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye n'ayogera nti Kale muleete obutta. N'abusuula mu ntamu; n'ayogera nti Mujjulire abantu balye. Ne wataba kabi mu ntamu.