2 Kings 4:42 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusajja omu yava e Baali-Salisa ng'aleetedde omuntu wa Katonda emigaati amakumi abiri egya sayiri, n'empeke z'ebibala ebibereberye, ng'abitadde mu nsawo ye. Elisa n'amugamba nti: “Wa abantu balye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waaliwo omusajja eyava e Baalusalisa, n’aleetera omusajja wa Katonda emigaati egya sayiri kumi n’ebiri nga mmere ey’okubibala ebibereberye, ate era n’amuleetera n’ebirimba eby’eŋŋaano embisi. Erisa n’agamba omuweereza we nti, “Bigabire abantu babirye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lwali lumu ne wajjawo omusajja eyava e Baalusalisa, ngatadde mu nsawo ye ebirimba by'eŋŋano ebyengevu n'emigaati abiri (20) egya bbaale eyasookera ddala mu makungula ge, n'abireetera omusajja wa Katonda. Erisa n'agamba omuweereza we nti: Biwe abantu balye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Lwali lumu ne wajjawo omusajja eyava e Baali Saaliisa, ng'atadde mu nsawo ye ebirimba by'eŋŋaano ebyengevu n'emigaati amakumi abiri egya bbaale eyasookera ddala mu makungula ge, n'abireetera omusajja wa Katonda. Elisa n'agamba omuweereza we nti: “Biwe abantu balye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omusajja n'ajja ng'ava e Baalusalisa, n'aleetera omusajja wa Katonda emmere ey'okubibereberye, emigaati egya sayiri amakumi abiri n'ebirimba eby'eŋŋaano ebibisi mu nsawo ye. N'ayogera nti Bawe abantu balye.