2 Kings 4:43 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuweereza we n'amwanukula nti: “Nsobola ntya gino gyokka okugigabira abasajja ekikumi?” N'addamu n'amugamba nti: “Wa abantu balye. Kubanga Omukama kino ky'agamba: ‘Bajja kulya n'okulemwa balemwe.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuweereza we n’amuddamu nti, “Bino mbigabula ntya abantu ekikumi?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuweereza we n'agamba nti Nkole ntya! Buno bwokka bwe mba mpa abantu ekikumi (100). Erisa n'addamu nti: Abantu bawe balye, kubanga Mukama agamba nti Bajja kulya balemerwenawo!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuweereza we n'agamba nti: “Nkole ntya! Buno bwokka bwe mba mpa abantu ekikumi.” Elisa n'addamu nti: “Abantu bawe balye, kubanga Mukama agamba nti: ‘Bajja kulya balemerwenawo!’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omuddu we n'ayogera nti Owa! nteeke kino mu maaso g'abasajja ekikumi? Naye n'ayogera nti Bawe abantu balye; kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Banaalya ne balemwa.