2 Kings 4:44 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agibagabira; baalya ne balemwa n'okulemwa, ng'Omukama bwe yali agambye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Erisa n’amuddamu nti, “Bigabire abantu babirye, kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Banaalya ne bibalemeranawo.’ ” N’abibagabula, ne balya, ne bibalemeranawo, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuweereza n'ateeka eby'okulya ebyo mu maaso gaabwe, ne balya ne balemerwawo, nga Mukama bwe yagamba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuweereza n'ateeka ebyokulya ebyo mu maaso gaabwe, ne balya ne balemerwawo, nga Mukama bwe yagamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'agiteeka mu maaso gaabwe, ne balya ne balemwa ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali.