2 Kings 4:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe zaamala okujjula, n'agamba mutabani we nti: “Yongera endala.” N'ayanukula nti: “Tekyaliyo nsumbi ndala.” Omuzigo ne gulekera awo okujja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebintu byonna ebyali awo bwe byajjula, n’agamba omu ku batabani be nti, “Ndeetera ekintu ekirala.” Naye n’amuddamu nti, “Biweddeyo.” Awo amafuta ne gakoma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
By'attuliramu bwe byajjula n'agamba omu ku batabani be nti Ndeetera eky'okuttululiramu ekirala. Omwana n'amugamba nti Tewakyali kittululirwamu kirala. Awo amafuta ne gakoma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
By'attuliramu bwe byajjula, n'agamba omu ku batabani be nti: “Ndeetera eky'okuttululiramu ekirala.” Omwana n'amugamba nti: “Tewakyali kittululirwamu kirala.” Awo omuzigo ne gukoma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka ebintu bwe byajjula n'agamba mutabani we nti Ndeetera nate ekintu. N'amugamba nti Tewakyali nate kintu. Amafuta ne gakoma.